Exodus 38:25-26

25 aNe ffeeza eyaweebwayo abaabalibwa nga bava mu kibiina mu kubala abantu, yali wa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. 26 bNoolwekyo, buli muntu yawangayo gulaamu ttaano ne desimoolo ttaano ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli ng’aweebwayo abo abaabalibwa nga bava ku myaka egy’obukulu amakumi abiri n’okweyongerayo, bonna baawera abasajja obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
Copyright information for LugEEEE